Ttiimu y'essaza Kyaggwe yesozze oluzannya olw'akamalirizo olw'empaka za Masaza ga Buganda ez'omupiira ogw'ebigere oluvanyuma lw'okuwandulamu ttiimu y'essaza Bugerere. 

Kyaggwe okugenda ku fayinolo egudde maliri ne Bugerere 0-0  mu kisaawe e Ntenjeru, wabula nga oluzannya olwasooka e Mukono Kyaggwe yakuba Bugerere goolo 1-0. 

Kyaggwe ezeeyo ku fayinolo omulundi gwayo ogw'okubiri, nga yasooka okutuuka ku fayinolo mu 2024 naye Buddu negitwalako ekikopo. 

Ku fayinolo ya 2026 Kyaggwe egenda kuzuzumba ne Gomba nga 31 October, mu kisaawe e Wankulukuku. 

Ttiimu zino zaabadde mu kibinja kye kimu Masengere mu mpaka ez'omwaka guno 2026, era zalemagana goolo 1-1 e Kabulasoke ate ne Mukono balemagana goolo 1-1. 

Bugerere egenda kuttunka ne Butambala mu kulwanira ekifo eky'okusatu. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe