Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu butongole agguddewo omwoleso gwa CBS PEWOSA ogw'ebyobulimi oguyindira mu kibuga Masaka.
Katikkiro asabye abantu ba Kabaka Okwongera okwettanira Emyooleso bafunemu amagezi agabakulaakulanya, era abajjukizza okukuuma Omutindo gwa buli kyebakola ,olwo bavuganye bulungi mu butale.
Abalimi n'abalungi abakoseddwa ennyo omusana ogubadde gwememula negukaza ebimera byabwe, obutagwamu ssuubi wabula okussaawo enteekateeka ez'okwanganga embeera ng'ezzeemu, omuli okusima enzizj n'okufukirira ebirime.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza abantu ba Kabaka abekuumidde mu bibiina by'Obweegassi ,era bano abasabye okunyweeza Obumu ,n'Okwettanira tekinologiya.
Minister w'Ebyobulimi Obulunzi n'Obweegassi Hajji Amiisi Kakomo yeebazizza abantu ba Kabaka abongedde okwettanira Emyooleso,era agambye nti waliwo bangi abagifunyeemu ebyensusso.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Buddu Pookino Jude Muleke, yebazizza Obwakabaka olw'okulowooza ku Bantu baabwo mu Buddu n'Amasaza amalala, nga babaggulirawo emikisa gyebayinza okwettanira okwerwanako okwesitula mu by'enkulaakulana.
Aboolesi mu mwooleso guno omuli bannamakolero, ab'ebyobulambuzi, Insurance Regulatory Authority, Amatendekero n'Amasomero basabye abantu ba Kabaka okujja mu bungi mu mwooleso ennaku ezisigaddeyo, betwalire ku Bintu era basomesebwe.
Omwoleso guno gukomekkerezebwa nga 27 September,2026.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment