Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Flavia Nabakooza agobye okusaba munna NUP David Lewis Rubongoya mwabadde asabira Kkooti eno okukaka akakiiko k’ebyokulonda okuleeta ebiwandiiko byekaasinziirako okulangirira Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda ku kifo ky’Omubaka wa Kampala Central.

 

Rubongoya yatwala Minsa Kabanda mu kkooti ng'amulumiriza okwenyigira mu mivuyo gy'okulonda, omuli okukyusakyusa ebyava mu kulunda, okutiisatiisa abalonzi n'ebirala.

 

Ebyo ngabikyali awo Okuwulira omusango ogwawaabwa munna kibiina kya NUP, Moses Kaatabu, ng’awakanya obuwanguzi bwa Mayor wa Kampala Central, Salim Uhuru, kwongezeddwayo okutuuka nga October 13, 2026, kkooti lw’eneesalawo ku nsonga y'okwesigama ku bujjulizi bw'obutambi ne bifaananyi mu musango guno.

 

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Flavia Nabakooza, yayongezayo okuwulira omusango guno oluvannyuma lw’enjuyi zombi okuwayo ensonga zaabwe ku bujulizi obuli ku butambi ne ku bifaananyi omuwaabi bwayagala kkooti eyesigameko ngesala omusango.

 

Kaatabu alumiriza Uhuru okufuna obuwanguzi mu bukyamu.

 

Ng’ayita mu munnamateeka we, Kenneth Kakande, Kaatabu agamba nti ebimu ku bifo ebyalonderwamu byali tebikkirizibwa mu mateeka, era  alumiriza nti abantu abatali balonzi baakkirizibwa okwetaba mu kulonda.

 


 

Kaatabu ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Uhuru.


 Bisakiddwa: Betty Zziwa