Kooti y'amagye esingisizza omusango abantu ba bulijjo 2 abaali bambega ba government, ogw'okubeera mu kkobaane ly'okutega bbomu e Munyonyo ne Kalerwe mu June wa 2025, abakyala 2 nezibatta.

 

 

Hamza Lyavaala ne Walusansa Adiil  bebasingisiddwa omusango mu kooti y'agye ekubirizibwa Brigadier Richard Tukacungurwa.

 

AOludda oluwaabi olukuliddwa Lieutenant Regina Nanzala lutegezezza nti Lyavaala ne Walusanda baali baasindikibwa okuyambako government okuketta abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF), wabula bwebaatuuka eyo, ate nabo nebenyigira butereevu mu bikolwa by'ekitujju, era nebatega bbomu ezatta Sumaya Byaruhanga ne Azatu Sawiya.

 

Sumaya yafiira mu bbomu eyatulikq nga  3 June, 2025, okumpi n'olutindo lwa Kaggwa Bridge,okuliraana ekelezia yq  Munyonyo Catholic Shrine.


Sawiya ye yafiira mu bbomu eyatulika nga 21 June,2025 ku katale ke Kalerwe.

 

POludda oluwaabi lutegeezezza nti olukwe lw'okutega bbomu ezo baalukola wabulayo wiiki 3 okutuuka ku lunaku lw'abajulizi e Namugongo, olukuzibwa buli nga 03 June.

 

Lieutenant Colonel Ephraim Byaruhanga naye avunaanibwa n'ababiri.bano ye emisango agyegaanye.

 


 

AKigambibwa nti Byaruhanga yeyafunira Lyavaala ne Walusansa ddiiru y'okutega bbomu, era Lyavaaa yawebwa buvunaanyizibwa bunoonya mukazi lumira mwoyo asobola okwetulisizaako bbomu, ate Walusansa ogugwe gwali gwakufuna nnyumba mwebaakolera omupango gwabwe, era yeyakwasibwa n'ensimbi ez'okutuukiriza Miisoni.

 

PrEnnyumba baapangisa Kinaawa ne Nateete.

 

Lyavaala yatuukiriza Kassim gweyasanga mu bitundu bye Busoga, ng'ono yeyamufunira Sumaya eyakola omulimu.

 

Kigambibwa Lyavaala ne Walusansa ne Anthony Sekalala bebaakola omulimu gw'okukolerera bbomu, nga bagoberera amagezi agaabawebwa Byaruhanga era bbomu 2 nebazitulis.

 

 

TKooti etaddewo olwa nga 12 October,2026 lwegenda okusomera Lyavaala ne Walusansa ebibonerezo byabwe.

 

Bisakiddwa: Betty Zziwa