Kooti enkulu e Masaka egobye emisango 48 egibadde givunaanibwa abayizi abaali ab'essomero lya St.Benards SS Manya mu district ye Rakai, nga baali bateeberevwa nti bebaayokya ekisulo ky'abayizi abalenzi nga 11 November,2018.
Abayizi 10 bebaatokomokera mu muliro ogwo, ate abalala 36 nebasigala n'ebisago eby'amaanyi.
Police yakwata abayizi 4 abaali bagobeddwa ku ssomero eggulo limu, nga bateeberezebwa nti bebaali bawooledde eggwanga n'ebookya bannabwe.
Abaakwatibwa ye Mugalula Alex,
Nio Edson,Kisuule Dickson ne
Talemwa Henry, era nebaggulwako emisango 48 omwali ogw'okutta abantu,okwomya essomero n'emirala.
Wabula bannamateeka baabawawabirwa aba Ssekyewa, Matovu and company advocates baasaba omulamuzi ayimbule Talemwa Henry nti kubanga yali mwana muto eyali tanaweza myaka 18.m omulamuzi kyeyakkiriza naggyibwako emisango.
Oluvannyuma bannamateeka era baategeeza nti ne Kisuule Dickson yali alaangibwa bwemage ku misango gy'okwokya essomero, nti kubanga olunaku ekisulo lwekyayokebwa, yali mu kkomera nga yali yakwatibwa ku misango mirala nga 10 November,2018.
Omulamuzi yakkiriziganya ne bannamateeka era emisango gino naagigoba.
Wabula oluvannyuma lw'emyaka 7, emyezi 11 n'ennaku 22, omulamuzi.Victoria Nakintu agobye emisango gyonna 48, naalagira n'ababiri ababadde bakyali mu kkomera, Mugalula Alex ne Nio Edson nabo bayimbulwe balye butaala.
Omulamuzi agambye nti abapolice baalemererwa okuzuula abantu abatuufu abaayokya essomero.
Sam Ssekyewa munnamateeka w'abawawaabirwa, okuva mu Ssekyewa Matovu and Company Advocates yennyamidde olw'abayizi bano ebbanga lyonna lyebamaze mu kkomera nga tebazza misango, era nategeeza nti betaaga nnyo okubudaabudibwa.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment