Club ya Villa Jogo Ssalongo esubiddwa okulinnya kuntiko ya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, bwegudde maliri ne club ya Kataka goolo 1-1 e Bukedea.
Club ya Kataka yesoose okuteeba mu dakiika eya 52 okuva ewa Ali Ssentamu ate goolo ya Villa Jogo Ssalongo etebeddwa Najib Yiga mu dakiika eye 67.
Villa Jogo Ssalongo kati yakubiri n'obubonero 11 okuva mu mipiira 5, nga BUL ekulembedde ebasingako akabonero kamu kokka.
Club ya Kataka ya 17 n'obubonero 2 okuva mu mipiira 4.
Mungeri yeemu club ya Kitara ekubye Kigezi Homeboys goolo 1-0 mu kisaawe kya Hoima City Stadium.
Goolo ewadde Kitara obuwanguzi etebeddwa Edward Namasa mu dakiika eya 23.
Kitara omupiira guno egwefuze ebitundu 52% ate Kigezi Homeboys ebadde n'ebitindu 48%.
Club ya Maroons ekubye Lugazi goolo 3-0 mu kisaawe e Wankulukuku, wabula Lugazi omupiira guno egumazeko nabazannyi 10 bokka oluvanyuma lwa Odongo Francis okufuna kaadi emyufu.
Ate club ya Ntungasaazi nayo ekubye Mbarara City goolo 1-0 e Kamwokya.
Mbarara City nayo omupiira guno egumazeko nabazannyi 10 oluvanyuma lwa Ambrose Arinda okufuna kaadi emyufu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment