Kooti enkulu mu Kampala esingisizza Muwonge Ibrah, omusango gw'obutujju ogwamuggulwako, olw'okuba ng'abadde yenyigira mukubba waya z'amasannyalaze.
Muwonge Ibrah era ng'oluusi abadde yeyita Kimbowa Ibrah, yakwatobwa oluvannyuma lw'okukizuula nti y'omu ku babadde mu kabinja k'abantu abalinnya ku miti nebasalayo waya ezitaambuza.amasannyalaze okugatwala mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo, okuli waya eziva ku masundiro g'amasannyalaE erye, iOwen Falls okutuuka e Lugogo, Bujagali okudda e Kawanda, Owen Falls okugenda e Namanve, ne Kawanda okudda e Kapeka.
Obunyazi buno kigambibwa nti yabukola wakati wa November ne December 2022.
Obubbi bwa waya z'amasannyalaze obwo bwaviirako okukosa emirimu mingi mu ggwanga egitambulira ku masanyalaze, omuli okusuunda amazzi, ebyuuma by'amalwaliro, amasomero, eby'obusuubuzi n'emirala mingi.
Olw'ekibululu ekyasaanikira eggwanga, government yalina okusala amagezi mu bwangu okusaawo essundiro ly'amasannyalaze ag'ekika kya Thermal mu bitundu bye Namanve, agaayambako okuliikiriza ekibuga ky'eggwanga ekikulu kireme kubeera mu kibululu kumala nnaku nnyingi.
Oludda oluwaabi lulumirizza Muwonge Ibrah okutondawo Omukutu gwa Wthatsapp, gweyakozesa okuwandiisa, okuduumira n'okuwa ensimbi abavubuka abaalumba nebatema emiti gy'amasannyalaze saako okubbayo waya nrbazitikka ku mmotoka nga basinziira mu bitundu ebyenjawulo.
Abantu 8 bebabadde bakawa obujulizi ku Muwonge Ibrah, kwekukkiriza nti ddala yaguzza, era naasaba kooti emuddiremu emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu okuyita mu nkola eya plea bargain.
Bisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment