Akakiiko ka parliament akalondoola ensonga zobwa President kazudde nti government ya Uganda yakateeka ensimbi obuwumbi 723 mu kampuni y'obwannanyini eya Dei BioPharma Limited, era nga yeesinga okubeeramu n'emigabo emitono.
Alipoota ekoleddwa akakiiko ka parliament kano eyavudde mu kwekeneenya ebitongole government byesigamu ensimbi ebiri mu nteekateeka ya science ne tekinologiya, ezudde nti mwaka gw'ebyensimbi 2023/24 goverment lweyasooka okuteeka ensimbi mu kampuni eno, mu mwaka ogwo yagiwa obuwumbi 70.
Mu mwezi gwa December mu mwaka gwegumu ogwo 2023, government yayongera kampuni ya Dei Pharma obuwumbi 75.
Mu mwaka gw'ebyensimbi 2024/2025, alipoota eno essomeddwa eri parliament omubaka wa Badeghe Layibi Ojara Mapenduzi, ennyonyodde nti government yakwata obuwumbi obulala 578 nebwongera kampuni eno eya Dei Pharma Limited, nga zino zaayisibwa mu mbalirira eyenyongereza.
Ensimbi zino zonna government zetadde mu kampuni eno eziwera obuwumbi 723 n'obukadde 4000, alipoota eno eraze nti government erinamu emigabo ebitundu 9.4%, ekintu ekirese ababaka nga boogera obwama.
Wabula wadde government etadde ensimbi nnyingi mu kampuni eyo, ate alipoota eraze nti abaddukanya kampuni eno betaaga ensimbi endala okuva mu government eziweza trillion 1 n'obuwumbi 746, nti okugisobozesa okutandiika okukola eddagala.
Akakiiko kagambye nti singa kampuni eno etandika okukola mu bulambalamba ,yakutaasa eggwanga okwesigama ennyo ku ddagala eriva ebweru w'eggwanga
Alipoota eno eraze nti mu kiseera kino kampuni eno eya Dei BioPharma ekola eddagala okuli empeke za paracetamol, tramadol, metformin, doxycycline ne metronidazole neddagala eddala lingi.
Kinnajjukirwa nti kampuni eno yatandiika okuwulirwa mu matu gabannauganda mu kiseera kya COVID 19, omusajja omu Mathias Magoola eyategeerekeka nti musiga nsimbi bweyasisinkana omukulembeze w'eggwanga ku nsonga y'ekkolero lino erikola eddagala.
Mu mwaka 2023, president Yoweri Museveni yaggulawo mu butongole omulimu gwokuzimba ekkolero lino mu bitundu bye Mattuga.
Government yeeyama okukwasizaako musiga nsimbi ono, wadde ensimbi ezizze ziweebwa musiga nsimbi ono owa Dei Pharma emyaka gyonna zaali ziwakanyizibwa eyali minister w'ebyebsimbi ku ludda oluvuvanya government era eyali omubaka wa munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda.
Ekkolero ly'eddagala lino lisangibwa Matugga mu gombolola ye Gombe mu district ye Wakiso, nga litudde ku bunene bwa yiika z'ettaka 150.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment