Police ye Jinja eyigga John Okyali agambibwa okukakkana ku munne Robert Oketcho bwebabadde bakola ogw'obukuumi ku ssundilo lyamafuta erya Hared mu kibuga Jinja, namukuba amasasi agamusse.
Ekikolobero kino kibaddewo mu kiro ekikeesezza leero nga 16 November,2026.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Kiira region SP James Mubi agamba nti Okyali yabadde agezaako okutabaganya Oketcho ne mukyalawe Scovia gweyabadde ayise okuva e Iganga, wabula nebongera okutabuka, Okyali kwekukwata ku manduso essasi nerikwata Oketcho naafiirawo.
Agambye nti ababiri babadde bakozi mu kitongole ekikuumi eky'obwannanyini, ekya Security Plus Co.Ltd.
Afande Mubi asabye abafumbo bulijjo okwewala obutabanguko mu maka.
Bisakiddwa: Kirabira Fred
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment