Embeera ya Bunkenke mu Lubigi okumpi ne Nansana ku Hoima Road, oluvanyuma lw’amazzi mu mugga guno okusalamu ekkubo mu nkuba ekedde okufudemba ku Monday nga 16 November,2026.
Abantu ababadde bakedde okugenda okukola mu Kampala nga bava ku ludda olw'e Nansana basaanze akaseera akazibu, era bangi ababadde abatambulira ku pikipiki zibalemeredde baweese baweeke ku migongo okusala amazzi.
Emmotooka ezimu.nazo zifiiriddemu mu mazzi agasazeemu ekkubo, awo embeera neyeyoongera okubiggya ng'emmotoka endala tezirina weziyita.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment