Essiga eddamuzi  litongozza enteekateeka ey'okugojoola emisango egikwata ku yinsuwa, emisolo, nekubwannanyini ku bintu,  ng'emisango gino gyakusalwanga obutasukka wiiki 2 nga giwaabiddwa. 


Enkola eno etuumiddwa Mediation Fortnight, egendereddwamu okukendeeza ku bungi bw'emisango egyetumye mu kkooti y'ebyobusuubuzi.


Akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Jane Frances Abodo, n’akulira ekitongole ekitendeka abalamuzi n’abakozi ba kkooti, Dr. Andrew Kaukha, basiimye abayinsuwa, abayiiya, ekitongole kya URA n’abannamateeka okwaniriza enteekateeka eno.


Omulamuzi Abodo annyonyodde nti buli misango gy'obusuubuzi lwegirwawo okusalwa, ezo ziba sente eziba zitudde, n'olwekyo enkola eno yakuyambako okununula ensimbi nnyingi, era zonna ezinaanunulwa mu nteekateeka eno zijja kuddayo mu byobusuubuzi ne mu mirimu emirala egy’enkulaakulana, 


Abalamuzi bagambye nti wadde ng’emisango gino ssi mingi, naye okugimalawo nga bukyali kijja kuyamba okukuuma enkolagana wakati w’abasuubuzi n’ekitongole ky'emisolo ne yinsuwa, n'okusitula obusuubuzi mu ggwanga.

Bisakiddwa: Betty Zziwa