Ministry y'ebyenjigiriza n'emizannyo efulumizza ennambi enaagobererwa amasomero mu kusomesa abayizi mu mwaka gw'ebyensoma ogujja 2027 etuumiddwa National Education Calendar 2027.
Olusoma lwa Term esooka lwakutandika nga 1 February 2027 okutuusa nga 30 April, 2027.
Abayizi bakusomera ennaku 89, olwo bawummule okuva nga 1 May okutuusa nga 23 May 2027 z'ennaku 23 zokka.
Olusoma lwa Term eyokubiri, lwakutandika nga 24 May 2027 okutuusa nga 20 August 2027, era nazo ennaku ezolusoma ziri 89.
Abayizi era bakuwummula ennaku 23, okuva nga 21 August okutuuka nga 12 September 2027.
Term eyokusatu etandike nga 13 September 2027, okutuusa nga 3 December 2027, olwo bakusomera ennaku 82, ate bawumule 58 okuva nga 4 December okutuusa nga 30 January 2028.
Okusinziira ku nnambika eno ekakasiddwa omwogezi wa ministry yeebyenjigiriza Dr. Dennis Mugimba, agambye nti abayizi abaatudde P.7 abagenda okutandika okusoma S.1 basuubirwa okutandika nga 8 February 2027, ate aba S.5 abatudde Senior eyokuna omwaka guno.m baakutandika nga 15 February 2027.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment