Police ya Uganda ekalambidde nti yakugenda mu maaso n'ebikwekweeto byayo ku bookya amanda mu bitundu bya West Nile, nga bateekesa mu nkola ekiragiro kya President ekya Executive Order No.3.

Mu mwaka gwa 2023 President Yoweri Museveni yafulumya executive order no.3 ng'ekugira abantu obutaddamu kwokya, kutunda, n'okutambuza amanda okuva mu bitundu bya West Nile okuzzaawo obutonde bw'ensi obwataagulwa mu kitundu ekyo.

 Police egamba nti wano weyasinziira neeyimiriza okuggya amanda mu bitundu okuli West Nile, Karamoja ne Teso.

Minister omubeezi ow'ebyobugagga eby'ensibo Phiona Namutooro naye yategeeza parliament nti abantu mu byalo balina okuyigirizibwa okufuumbisa gas, bakendeeze okufumbira mu manda n'enku.


Ensonga z'amanda zaayongera okutabula ababaka bagamba nti tewali nteekateeka nnungamu eteereddwawo bantu ba bulijjo ku byebagenda kukozesa bave ku manda, kale nga kikyamu okuwera amanda mu kaseera kano.

Mu ensisinkano ne bannamawulire ku kitebe kya police e Naguru omwogezi wa police Kituuma Rusoke agambye nti ebikwekweto byabwe sibyakuyimirira, kyokka naasaba abantu obuteraliikirira kuba biri mu bitundu bya West Nile, Kalamoja ne Teso byokka sso ssi ggwanga lyonna.

Kituuma ategezeza nti ogwabwe gwakuteeka kiragiro kya President mu nkola era kyebakola okuggyako nga bafunye okulungamizibwa okulala okuva eri abakatibwako ensonga eno.#