Ab'oluganda n'emikwano gy'Omukama eyazaama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV banjudde enteekateeka y'okutongoza ekitongole ekituumiddwa King Oyo Foundation, n'ekigendererwa eky'okukuuma omukululo gwe.

Ekitongole kino kyanjuddwa  ku Sheraton Hotel mu Kampala, era nga Stephen Rwakijuma Nyabongo agenda okubeera ssenkulu wakyo omubereberye ayanjudde emiramwa gyebagenda okusaako essira.


Mulimu okutandikawo ekkadiyirizo ly'ebintu Omukama Oyo byeyakozesaanga nga ligenda kubeera mu maka ge ag'obwannnayini e Fortportal ne Buziga.

Okutumbula eby'obulambuzi, okunoonyereza ku kirwadde kya Kkookolo, eby'enjigiriza, eby'obulimi, okutumbula abavubuka n'ebyobulamu.


Rwakijuma ategeezezza nti emikolo emikulu egy'okutongoza King Oyo Foundation gyakubaawo nga 15 December,2026 ku Speke Resort Munyonyo.

Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV yava mu bulamu bw'ensi eno nga 27 August,2026, ku myaka 34 egy'obukulu, era nga yafa kirwadde kya kkookolo.#