Oluvannyuma lw’okumala ennaku eziwera mu bitundu by’ekibuga Soroti okutaasa abatuuze ku kisolo ekyalowoozebwa okubeera engo, abakugu ba Uganda Wildlife Authority bavuddeyo mu kitundu ekyo oluvannyuma lw’okukizuula nti zaali mbwa za ggobe zezaali ku mugomyo!.

Abatuuze mu kibuga Soroti naddala abaliraanye Soroti University beekubira enduuli eri ab’ekitongole ky’ebyomusinko nga balabye ebisolo byebataategeera nebalowooza nti oba oli awo Ngo zezaatoloka mu kkuumiro lyazo.

Ebisolo bino byalumaaluma ebisolo by’awaka omuli embuzi, embizzi n’ebirala.

Wabula Dr. Joshua Lubega omukugu mu by’ebisolo ng’ono asinziira ku Murchison Falls Conservation,  agambye nti bwebaafuna amawulire ku kigambibwa okubeera Engo mu kitundu, baaweereza basajja baawe mu kitundu okwekenneenya embeera n’okukkwata ekisolo ekyo.

Agambye nti baatega ensolo zino, wabula omutego gwakwatamu mbwa!

Agambye nti ebisolo by’awaka 29 byebyattibwa n’okutuusibwako obuvune (Embwa z’eggobe) 

RCC w’ekibuga Soroti, Okurut Michael, agumizza abatuuze nti ekitundu tekiriimu Ngo kubanga afunye obukakafu obutaliiko kubuusabuusa okuva mu bakugu ba UWA.

Aba UWA bagambye nti bekenneenyezza ebifaanyi ebyayitinganira ku mutimbagano ebyalaga nti ekitundu kirimu Engo, nebakizuula nti byali bigingiriddwa bugingirirwa nga bakozesa AI.

Bategeezezza nti baagoba n’obuwuufu bw’ebisolo ebyo, naye bwebeekenneenya ng’ebigere bya mbwa so ssi Ngo.

Bisakiddwa: Diana Kibuuka.