Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki UNEB nga kiri wamu ne police bakutte akulira essomero lya Link Star High School ayitibwa Kakonge Godfrey lwakulemesa muyizi wa S.4okukola ebimu ku bigezo bye, olw'okuba nga yali tanammalayo bisale bya ssomero.

Kigambibwa nti headmaster ono Kakonge Godfrey yakwata Endagamuntu y'omuyizi  agenda okukola ebigezo, naamulemesa okukola ekibuuzo ky'essomo ly'eddini erya Religious education.

UNEB egamba nti yali nnambulukufu mu nsonga eno nti omuyizi yenna abanjibwa ssente akkirizibwe akole ebibuuzo, wabula enamba zabwe index numbers abakulu besomero baziwereze eri UNEB esobola okukwata ebibuuzo byabwe okutuusa nga basasudde sso ssi kubagaana.

Omwogezi we Kitongole kya UNEB Jeniffer Kalule Musamba asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya police e Naguru, najjukiza amasomero   okuleka abayizi bonna abewandiisa bakole ebibuuzo.

Mungeri yemu Jenifer Kalule ategezeza nti balina abantu 2 abalala abakwatiddwa  e Ntinda  mu Kampala okuli Tukai Augustine ne Lydia Mirembe, ku bigambibwa nti bajiingiridde ebiwandiiko n'okwefuula kyebatali.

UNEB egamba nti Tukai Augustine yawebwa ebbaluwa emukkiriza okukuuma ebibuuzo, kyokka nagikwata nakolamu kkopi nawaako Lydia Mirembe, era babadde bagenda mu masomero nga beyita balooya ba UNEB ne birala n'ekigendererwa ekyokuggyamu amasomero ssente.

Jenifer agambye nti baakwasiddwa police era basuubirwa okutwalibwa mu kooti  bavunaanibwe ogw'okweyita kyebatali.#