Minister w'amasanyalaze n'obugagga obw'ensibo Dr.Monica Musenero asabye Ssaabawolereza wa government amuyambe alungamye eggwanga ku nsonga ekwata ku bwannanyini bwa kampuni ya Bus eya E-Bus Express, eri wansi wa kampuni ya government ekola bus eya KIIRA Motors.


 Akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y'emirimu mu bitongole bya government ka COSASE , bwekalambudde ewakkolero lya government ewakalerwa emmotoka za Kiira, ababaka bakitegedde nti emigabo gya kampuni eno eya E-bus, ebitundu 98% giri mu mannya ga minister Monica Musenero eyali minister wa science ne tekinoligiya.


Kino kyewuunyisiza nnyo ababaka kwekusalawo okuyita minister Musenero nga kati ye minister  w'amasanyalaze n'obugagga obw'ensibo, annyonyole engeri gyeyafunamu emigabo mu kampuni eno eya E- Bus Express.

Kampuni eyogerwako eya  E-BUS Express yatandiikibwawo mu mwaka gwa 2024 okusaabaza abantu mu Kampala n'ebitundu ebiriraanye Kampala.

Minisster Monica Musenero abuulidde CBS nti E-Bus Express bweyali etandikibwawo, yeyali minister wa Science ne tekinologiya kale nga emigabo mu kampuni eyo gyateekebwa mu mannya ge nga minister wa science ebiseera ebyo ku lwa government.

Minister Musenero agambye nti emigabo egyo ssi gijje ng'omuntu wabula gya ministry gyeyali akulembera, era kyakolebwa okuyita mu mateeka g'eggwanga nga bwekikolebwa mu bitongole ebirala nti abeera minister yawandiikibwa nga  nnanyini migabo.


Musenero asabye Ssaabawolereza wa government amuyambe alungamye ensonga eno bannansi bagitegeere, eggwanga lireme kukitwala nti yennanyini kampuni ate nga ya government.#