Omuntu omu afiiriddewo n'abalala 3 nebaddusibwa mu malwaliro nga biwala takka, mu kabenje akagudde e Munyonyo mu Kampala, abagoba ba bodaboda ezibadde ziwenyuuka obuweewo bwebatomereganye.
Akabenje kano kagudde mu kifo ekimanyiddwa nga Kaggwa Bridge, nga bodaboda zino zibadde kumisinde emiyitirivu wadde nga kubaddeko n'abasaabaze.
Abagoba ba Bodaboda mu kitundu kino bagamba nti bannabwe abamu basukka okuvuga endiima ku Entebbe express, kyokka nga webajivugira kkoona.
Police omulambo eguggyewo n'abasatu nebaddusibwa mu malwaliro.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment