Katikkiro Charles Peter Mayiga alangiridde nti  ebinaavanga mu mirimu egikolebwa Embuga ya Kisekwa mu kutawulula enkaayana z’ebika, wakubyanjuliranga Obuganda bugimanye mu bulambuluku bwagyo bumanye emisango egiba jigonjoddwa n’egikyakolebwako.

Mu lukungaana lwa bannamawulire lw’atuuzizza mu Bulange e Mengo, Katikkiro agambye nti kikulu nnyo abantu ba Kabaka okutegeera ekigenda mu maaso mu mbuga ya Kisekwa, n’okutegeera emisango gy’ebika eby’enjawulo bwegikwatibwa oba bwegyakwatibwa.

Omusango gw'ekika ky'Effumbe:

Ayogedde ku musango; Abazzukulu gwebaawaabira “Jjajjaabwe” Omutaka Walusimbi Yusufu Mbirozankya nga bawakanya eky’okuba Ow’akasolya k’abeddira ekika ky’Effumbe. Agambye nti omusango guno gwasalwa era Omutaka Yusufu Mbirozankya negumusinga wabula n’akwata mu mbuga ya Ssalambwa (N’ajulira ewa    Ssaabasajja). Okujulira kwe kukiteekawo nti y’akyali omukulu w’ekika ky’Effumbe okutuusa nga Beene alamudde.

Omusango gw'ekika ky'Envubu:

Owoomumbuga era ayogedde ku musango gw’ekika ky’Envubu, Omutaka George W.Nsikoteyombye yawaabira Omutaka Emmanuel Musoke Makaabugo ku ky’okubeera Kayita, Kisekwa n’alamula nti omuwaabi omusango gwamusinga wabula Ssaabasajja n’alagira omusango guno gukomezebwewo mu mbuga ya Kisekwa,  naalambika ensonga  ezaalina okwekenneenyezebwa.

Omusango gw'ekika kya Nakinsige:

Katikkiro ayogedde ku musango gw’abeddira Nakinsige ogwalimu okugugulana ku Kyeyune omutuufu, olw’abooluganda abaatandika ekika ekyo okuwaanyisiganya obukulembeze.

Omusango gw'ekika ky'Endiga:


Ku musango gw’abeddira Endiga abaali bagugulanira obwa Lwomwa, 

Luggya Bbosa Tabula yawaabira Eng. Daniel Bbosa Kakeedo era omusango negusalwa nga Tabula aguwangudde, wabula Eng. Bbosa n’ajulira.

Wabula Ssaabataka yali tannalamula ku kujulira kwa Tabula, ate Luggya Tabula yennyini n’atemula Eng. Bbosa Kakeedo ,nga nakati ali mu Kkomero kubanga yennyini yeewaako obujulizi mu Kkooti nti yeyatta Eng. Bbosa.

Emisango emirala mingi.

Katikkiro asabye abazzukulu okuva mu bika eby’enjawulo ababa batutte okwemuluguny akwabwe mu Mbuga ya Kisekwa okukkirizanga ebiba bisaliddwawo, bakomye okujulira nga ku misango gino mu ngeri y’okulowooza nti musono.

Minisita w’Obuwanga n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala asabye abazzukulu okwemanyiiza enkola y’okuwuliziganyanga nga bayita mu bika byabwe byennyini ,nga tebannagenda mu mbuga ya Kisekwa kiyambe obutaleetawo njawukana mu b’oluganda.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Kisekwa Dr. Robert Ssonko, Omuwandiisi wa Kisekwa Lubega Ssebende, Omuk. Dan Kyagaba ne Omuk. Samwiri Walusimbi.


Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka