Ministry yeby`obulamu etongozza enteekateeka y'okugaba obutimba bw'ensiri obw'obwereere mu Kampala ne Wakiso.
Obutimba obusuubirwa okugabwa buli obukadde 3 mu emitwalo 385,000.
Obutimba buno bwakutandika okugabwa ku Friday nga 20 okutuuka nga 22 November,2026.
Bw'abadde atongoza enteekateeka eno, Commissioner avunaanyizibwa ku by'okusomesa abantu ku by'obulamu Dr.Richard Kabanda agambye nti omusujja gw'ensiri, nga mu mwaka ogwayita 2025 gwokka, abantu abaakwatibwa Malaria nebajjanjabwa mu malwaliro bawera obukadde 11.7., abawera enkumi 2,340 baafa.
Dr.Kabanda awadde abantu amagezi obutagayaalirira kusulamu butimba bwa nsiri, baziyize Malaria.
Bisakiddwa: Musisi John
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment