Kooti okwetoloola eggwanga lyonna zitandise okuwulira emisango gy'ebyokulonda, okuva mu bantu abenjawulo nga bemulugunya ku byava mu kulonda kw'ababaka ba parliament okwaliwo nga 15 January,2026, n'okulonda kw'obukiiko bw'ebitundu.

Okuwulira emisango kutandise nga 14 September,2026 kulina okukomekkerezebwa nga 21 September,2026.

Abalamuzi 100 bebagenda okuwuliriza emisango gy'ebyokulonda gyonna wamu giri 346, egiwulirwa kooti enkulu n'ekooti eza wansi.


Emisango egigenda okuwulirwa kooti enkulu giri 48, egya kooti ento giri 52.

Emisangi egigenda okuwulirwa kooti enkulu mu Kampala giri 20, era nga gikwasiddwa abalamuzi 4.


Egimu ku misango egiri mu kooti gwe gwa Ssaabawandiisi wa NUP  David Lewis Rubongoya eyali avuganya ne munna NRM Hajjat Minsa Kabanda eyalangirirwa ku kifo  ky'omubaka wa Kampala Central.


E Nakawa East, omumyuka w'omwogezi wa NUP  Alex Waiswa Mufumbiro eyakubwako akalulu ng'ali mu kkomera nga n'okutuusa kati akyali musibe, awakanya obuwanguzi bwa munnaNRM Frederick Ruhidi.


Munna PFF Ivan Bwowe awakanya buwanguzi bwa  Joel Ssenyonyi mu Nakawa West.


Francis Lubega awakanya buwanguzi bwa Ali Mulyanyama  ku kifo ky'omubaka owa Makindye West.


Munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu naye ayagala kooti esazeemu obuwanguzi bwa munna NRM's Madinah Nsereko eyalangirirwa ku ky'omubaka wa 

Kawempe South.


Kooti y'e Masaka yeesinza emisango emingi giri 21, era gyakuwulirwa abalamuzi 5.


Kooti enkulu e Iganga erina emisango 13.


  Mbarara ne Wakiso buli emu erina emisango 10, ne district endala bwezityo.


Ate kooti eza wansi eziwulira  emisango egikwata ku bifo bya government ez'ebitundu, Makindye yesingamu emisango emingi giri 31 era ng'egisiinga girimu obubbi bw'obululu.


 Kawempe erina 20, Nabweru  17, Mengo 16 ate Kira giri 15.


Omulamuzi omukulu owa kooti enkulu Jane Frances Abodo asabye abalamuzi abakwasiddwa emisango gyonna egy'ebyokulonda okusooka okuyimiriza emirimu emirala gyonna, basooke bawulirize emisango gino, gisobole okugwera mu budde.


Bisakiddwa: Betty Zziwa