Government erangiridde nti abayizi bonna abanaabanga bamalirizza s.6 bakutwalibwa kutendekero lya government eribangula abakulembeze erya National Leadership Institute (NALI) erisangibwa e Kyankwazi okusomesebwa okwagala ensi yabwe, empisa n'ebirala.

Enteekateeka eno yakutandika omwaka guno 2026, era nga abayizi abanaaba muluwumula lwa s.6 bakutwalibwa e Kyankwazi batendekebwe.

Commissioner Hellen Seku nga yakulira enteekateeka zokwagazisa abavubuka ensi yabwe, asinzidde ku ssomero lya Immaculate Heart Girls Secondary School Nyakibaale mu district ye Rukungiri nategeeza nti president Museveni yamaze okuyisa n'okukakasa enteekateeka eno egende mu maaso, era yakutandika obudde bwonna.

Hellen Seku asabye abakulembeze mu masomero naddala abasomesa okubunyisa enjiri eno mu bayizi esobole okuvaamu ebibaala nga etandikiddwawo.

Seku ategezezza nti okwagala ensi  kulina kutandikira mu baana wansi era ye nsonga eyabaleetedde  basazewo okutwala abaana abatudde S.6 ku ttendekero e Kyankwazi bakule nga bamanyi kyekitegeeza okwagala ensi yabwe saako okubakuza n'empisa.

Agambye nti enteekateeka eno bwenakolebwa obulungi n'obumenyi bwa mateeka bugya kukendera mu bitundu by'egggwanga ebyenjawulo kuba oluusi ababwenyigiramu babeera tebakuziddwa bulungi mu mpisa n'omwoyo gw'eggwanga lyabwe.

Enteekateeka yali yayisibwa emyaka egyayita wabula neyimirizibwa esooke yekenneenyezebwe.#