Government ya Japan ng'eyita mu kitongole kyÁmawanga amagatte ekyebyenjigiriza nÓbuwangwa ki UNESCO, eriko obuvujjirizi obulala bwa nsimbi emitwalo gya doola abiri, zezikunukkiriza mu bukadde bwa shs 700, okwongera okusitula omutindo gwÁmasiro ge Kasubi.

Ezimu ku nsimbi zino zigenda kukozesebwa okutendeka abakuumi bÁmasiro, abagenda okusomesa abalambuzi ebikwata ku Masiro gano, nÓkunyweza ebyokwerinda byago.

Bwabadde alangirira obuvujjirizi buno ku Hotel Africana mu Kampala Judith Ogana omuk okuva mu UNESCO agambye nti ekirina okukolebwa kati kwekuwa obukuumi obumala eri Amasiro gano.


Yoshida Norimasa amyuuka omubaka wa Japan mu Uganda ategeezezza nti baagala okulaba ng'Amasiro gano gongera okukuumwa Obutiribiri, ku lwÁbantu ba Buganda nénsi yonna olwÉmirembe egiriddako.

Jackline Nyirakiiza Beesigye omukungu mu ministry yÉbyobulambuzi , agambye nti wasuubirwa enkulaakulana eyannamaddala mu bantu abakolera okumpi nÁmasiro, bayambeko mu kutumbula omutindo gwÁmasiro.

Omulangira David Kintu Wassajja agambye nti waliwo obwetaavu bwÓkuzimba ekkaddiyizo lyÉbifaananyi bya Bassekabaka n'ebintu ebirala.


Minister wÁmawulire , okukunga era Omwoogezi wÓbwakabaka owek Isreal kazibwe Kitooke nga yakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga, agambye nti bingi ebikolebwa okusitula omutindo gw'Amasiro gano , era yebazizza government ya Uganda neeya Japan olwokukwasizaako Obwakabaka.


Mu mbeera yeemu Japan ewaddeyo emitwalo gya doola za America 25 okudduukirira okukulaakulanya Olusozi Rwenzori, nga bwegukoleddwa ku Masiro.

Bisakiddwa: Kato Denis