Abakozi b'ebitongole by'Obwakabaka betabye mu kukola dduyiro owawamu, ng'emu ku nteekateeka y'okukuza olunaku olw'okwefumiitiriza ku ndwadde z'emitima.


Abakozi bakulembeddwamu Katikkito wa Buganda Charles Peter Mayiga ne ba minister abalala.


Olunaku lw'endwadde z'emitima lukuzibwa buli nga 29 September.

Olw'omwaka guno lutambulira ku mulamwa ogugamba nti "kuuma entununsi"

Obwakabaka nga bukuza olunaku luno, wategekeddwawo olusiisira lw'ebyobulamu, abakozi mwebakebereddwa endwadde ya Pressure, Sukaali n'amannyo, saako okusomesebwa ku ngeri y'okwewala endwadde z'emitima.


Omuli okukola dduyiro, okwewala okunywa omwenge, obutatuula nnyo mu kifo kimu nga bakola emirimu naddala egya wofiisi, okulya emmere erimu ebiriisa ewa omubiri obusobozi okwerwanako nga gulumbiddwa endwadde n'ebirala.


Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ministry y'ebyobulamu mu Buganda, bannamukago omuli aba Hearts Foundation, Meridian Nursing and Health Professional institute n'abalala.