Government okuyita mu ministry y'eby'obulimi, obulunzi n'obuvubi, etongozza kaweefube w'okugabira abalimi ebijimusa ku bwerere, mu kaweefube w'okutumbula obulimi obuvaamu ensimbi ezegasa okusitula ennyingiza y'abantu mu maka.

Government egamba nti essira yakuliteeka ku balimi n'abalunzi abatonotono naddala abo abalima emmwanyi n'amajaani.


Enteekateeka eno okussibwa mu nkola kyava ku kiragiro kya president Museveni kyeyawa ministry y'eby'obulimi okutandikawo ekkolero ly'ebijimusa okuyambako abalimi, olw'ettaka eryongedde okukenderaamu ebiriisa okwetoloola eggwanga lyonna.  

Okunoonyereza kwalaga nti embeera y'ettaka eritakyalina birungo, saako ekyeeya, bireese ebbula ly'emmere mu ggwanga.

Minister w'ebyobulimi Frank Kaajiiji Tumwebaze, bwabadde atongoza enteekateeka eno ku kitebe kya ministry Entebbe, agambye nti ebijimusa erisoba mu bukadde 350 byebigenda okugabanyizibwa eggwanga lyonna mu nteekateeka esoose.


Minister Frank Tumwebaze agambye nti ebijimusa byakubunyisibwa abakulira emirimu ku district bayite ba CAO, era nti abalimi bakukozesa kiro emu oba emu neekitundu buli yiika nga bakugabirwa ebijimusa okusinziira ku bugazi bwennimiro zaabwe.

Minister Tumwebaze asabye ba CAO okulaba nti ebijimusa biweebwa abantu babulijjo abali mu bwetaavu,  abatuufu sso ssikugenda mu beesobola.

Bisakiddwa: Ddungu Davis