Abayizi ba S.6 emitwalo 203,809 abeewandiisa okutuula ebibuuzo bya Uganda Advanced Certificate of Education, (UACE) omwaka guno 2026 babitandise  okubikola nga 09 November, bamaliriza 05 December.


Bakeeredde mu kigezo kya History abakola amasomo ga Arts/Humanities, ate aba Sciences bakeeredde mu lupapula lwa Mathematics, era n’olweggulo zempapula zeezimu zebagenda okukola.


Ku lwokubiri abayizi baakukeerera mu lupapula lwa Economics aba Arts,  ne Chemistry aba Sciences ku makya n’olw’eggulo.

Minister mu bwakabaka bwa Buganda, avunanyizibwa ku byenjigiriza,Owek Cotilda Kikomeko Nakate yeebazizza Ssabasajja Kabaka, okuyita mu nteekateeka eya Kabaka Education Fund, okukwasizaako abamu ku bayizi mu by’okusoma kwabwe naabajjukiza okusigala nga bampisa, ate baseeyo nnyo omwoyo kubanga ebigezo bino bisalawo kinene eri ebiseera byabwe ebyomumaaso.


Abayizi abatudde ebigezo bino beeyongedde obungi neebitundu 22.4%, okuva ku bayizi emitwalo 160,400 abaabituula mu 2025.

Abayizi abawala bawera 49% ate abalenzi bali ebitundu 52%.

UNEB egamba nti abayizi 41 bebagenda okukola ebibuuzo bino nga bava mu makomera  kuliko omuwala omu naabalenzi 40.



Jennifer Kalule Musamba, ayogerera UNEB, agambye nti bano bebayizi abasoose okutuula ku mutendera gwa S.6, nga bakozesa Curriculum empya eya Competence Based Curriculum, eyokusoma ng'omuyizi yesigama ku mbeera emwetoolodde n'okulaba, saako okukwata kwebyo ebimusomesebwa.


Bisakiddwa: Ddungu Davis