Radio Buganda CBS FM yetisse ekikopo ky’empaka z'emikutu gy'amawulire mu ggwanga, bwekubye emikutu gya Vision Group ku ggoolo 1 -0.
Empaka zino eza Mandera Media Tournament 2026, nga ziwagirwa kampuni ya Madera Group of companies ne City tyres, nga zaagendereddemu okugatta emikutu gyamawulire ejikolagana ne kampuni eno.
CBS okutuuka ku buwanguzi yatandise kuzannya mu bibiinja, era yasoose kuzanya ne ttiimu ya Pearl Fm, CBS neewangula ku ggoolo 2-0.
CBs azanye ne Vision group mu kibinja kye kimu nejiwangula ku ggoolo 2-1.
Mu mupiira ogwokusatu CBS yakubye Radio 4 ggoolo 12 – 0.
Ku luzannya lwa Quarter final, CBS ekubye Radio One/Akaboozi ku ggoolo 1-0.
Ku Semi-final CBS neddamu neekuba Pearl fm ggoolo 3-1, olwo negenda ku final neekubirayo New Vision ggoolo 1-0.
Omuduumizi wa ttiimu ya CBS, Kiyengo David, asaka n'okusoma amawulire ku CBS Emmanduso, yalondeddwa ng'omuzibizi asiinze mu mpaka zino.
Mu ngeri yeemu n'ekirabo eky’omukwasi wa ggoolo n’omuteebi asiinze kiwereddwa bazannyi ba CBS.
Richard Wandawa, akulira bakituunzi ba kampuni ya Mandera group of companies/City tyres agambye nti bakwongera okutegeka empaka zino buli mwaka, okwongera enkolagana neemikutu gy'amawulire.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment