Abakugu mu kujjanjaba endwadde zeemitima, bagamba nti okukola dduyiro ly'ekkubo erigenda ookuyamba bannauganda okwewala endwadde ezitasiigibwa naddala ezo ezikosa emitima, ezireeta omugejjo, kookolo nendala.


Mu kawefube wookutaasa abantu endwadde z'emitima n’okukendeeza kwabo abaddukira ebweru w'eggwanga okufuna obujjanjabi, government erina eddwaliro ly'ezimba  e Naggulu, nga lyakusuzaanga abalwadde 250, okwongera ku buweereza mu ggwanga.


Eddwaliro lisuubirwa okuggyibwako engalo  mu February 2027.


Mu ngeri yeemu government erina entegeka y'okuzimba amalwaliro agajjanjaba emitimu mu bitundu ebirala, era ettaka lyafunibwa dda, okuli Mbarara,Hoima,Lira,Soroti,Gulu ne Arua


Dr. John Omagino, ssenkulu w'eddwaliro ekkuli erijjanjaba emitima erya Uganda Heart Institute, (UHI), agamba nti ssinga government eyisa amateeka agakaka abantu, kampuni nebitongole okukola dduyiro okwewala omugejjo n'ekizibu kyabantu abakosebwa endwadde ezitasiigibwa.


Uganda olwaleero nga 06 November,2026 kwekulizza n'okujjukira olunaku lw'rnsi yonna olw'okwefumiitiriza ku ndwadde z'emitima, saako okukubiriza abantu okukuuma emitima gyabwe nga miramu, nga bayita mu kukola dduyiro n'ebirala.


Ebikujjuko byolunaku luno  bikwatiddwa ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo.


ensi yonna erukuza buli nga 29 September,wabula mu Uganda government yalwongezaayo,olw'ensonga eziteebeereka.


 Dr. Omagino akulira eddwaliro ly'emitima e Mulago agamba nti kisaanidde buli muntu okwewaayo akadde akakola dduyiro ku lw'obukulu bw'omutima gwe.


Agamba nti kyetaagisa n'okusaawo amateeka agatangira amasomero agatalina bifo bayizi webakolera dduyiro obutaweebwa layisinsi kukola, kuba nakino kiviirako endwadde okweyongera mu baana abato.


Ebiwandiiko by'eddwaliro ekkuli erya Uganda Heart Institute, (UHI), biraga nti abaana akakadde kamu nemitwalo 60 (1.6m) bebazaalibwa n'ekizibu ky'endwadde z'emitima.


Ebirala biraga nti ku buli bantu bana (4) abakulu, kuliko omu alina ekirwadde ky'omutima.


Amyuka akulira eddwaliro lya Uganda Heart Institute, Dr Peter Lwabi, agamba nti banna Uganda ssinga beewala okunywa omwenge ekisusse, okukomonta ssegereeti, ebiragalagala, okunnyo  omubisi, okwewala okulya eby'amasavu, sukaali nebiwomerera  kisobola okuyamba okutangira endwadde z'omutima n'endala.


Bisakiddwa: Ddungu Davis