Omulangira David Kintu Wassajja alondeddwa okubeera Omuyima w’ekibiina ekigatta abawungula obwato bw’amatanga ku Nnyanja Nalubaale, ekimanyiddwa nga Victoria Nyanza Sailing Club.
Ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Victoria Nyanza Sailing Club ekisangibwa e Kaazi ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale mu district ye Wakiso.
Omuyima w’ekibiina kino eyasooka Ssekabaka Daudi Chwa , era yeyawaayo ettaka okutudde ekitebe ky'ekibiina kino.
Okuva mu mwaka 1935 omuzannyo gw’Okuwungula Obwaato gubadde gukolebwawo.
Omulangira David Kintu Wassajja ategeezezza nti Obwakabaka bwakusigala nga bukuuma enkolagana ennungi n’Ekibiina kino, okukulaakulanya Omuzannyo gw’Okuwungula Obwato.
Eyaliko Omwaami wa Ssaabasajja Kabaka ow’egombolola ya Makindye Ssaabagabo Kiriibwa Mukasa, ategeezezza nti emyaka etaano Omulangira Wassajja gyagenda okubeera Omuyima gisubirwamu ebirungi bingi, omuli okwongera okufunira Abavubuka emirimu, n’Okutumbula Omuzannyo gw’Okuwungula Obwato.
Omuzaana Marion Nankya Maama w’Omumbejja Ndagire Mazzi agambye nti omumbejja y’Omu ku baana abato abatandise okutendekebwa mu muzannyo gw’Okuwungula Obwato, ekigenda okumuyamba okusitula ekitone.
Omukolo guno gwetabiddwaako Omulangira Mbogo n’Omumbejja Mpologoma.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment