Police mu Kampala n'emiriraano ekutte ebyuma ebigambibwa nti bibadde bikozesebwa okujiingirira number plates za mmotoka ne za boda boda ezibeera zibiddwa ku bantu.
Police ebyuma bino ebikwatidde mu Kabowa zone ,Mutundwe mu division ye Lubaga mu Kampala.
Police ekikwekweto kino ekikoze oluvanyuma lw'okufuna amawulire nga bwewaliwo abantu abajingirira namba za plate za mmotoka ne boda boda eziba zibiddwa, nebaggyako ezibeera zisangiddwako olwo nebateekako ezabwe enjiingirire.
Ekikwekweto kino kikulembeddwamu police ye Nateete era egamba nti mu kifo webooyedde ebintu bino wabaddewo omusajja ategerekese nti ye Ssekitooleko Aloysius ,wabula adduse nga police yakatuukawo.
Ebimu ku bisangiddwa eno ze namba ezikozesebwa okuva ku A okutuuka ku Z, ebyuma ebyenjawulo, obuzifuyira,essimu ya Samsung ne namba okuva ku 0 okutuuka ku 9.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n'emiriraano Luke Owesigire agamba nti omuyiggo gutandise okufuuza bonna abenyigira mu bikolwa bino, naasaba abantu abalina kyebamanyi okuyambako police.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment