Abaana abali wakati w'emyezi 9 n'emyaka 5, abawera obukadde 8,285,835 bebaagemeddwa obulwadde bwa Measles ne Rubella, mu nteekateeka ya government ey'okugema okwekikungo eyakulungudde ennaku 5, mu October 2026.
Government yali eruubirira okugema abaana bukadde 7 n'ekitundu.
Wabula wadde guli gutyo kaweefube ono abaddemu okutataagana olw’amasomero agamu okuguguba, era ga district ye Wakiso enokoddwayo ng'emu ku district ezirimu abazadde abakwese abaana baleme kugemebwa naddala mu Nansana municipality.
Okugema kuno kwatongozebwa Minister w'ebyobulamu, Chris Baryomunsi, naakuutira abazadde naabalala abalabirira abaana obuteekiika mu nteekateeka ya government.
Okugema kuno kubadde kutanbulira ku mulamwa ogugamba nti, "Obumu bwa Uganda mu kugema Rubella ne Mulangira okwekikungo, kwekukuuma obulamu bwa buli mwana mu Uganda nga yeeyagala".
Dr Daniel Kyabayinze, director avunanyizibwa ku byokusomesa n'obujjanjabi obutali bwamuddwaliro, ategezezza Cbs nti wadde okugemesa okwekikungo kwawedde, bakusigala nga bayitayita mu bitundu ebisuubirwa okuba nti tebaatuuse ku baana abamu bagemebwe.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment