Ttiimu ya Uganda ey'omupiira ogw'ebigere eya Uganda Cranes egudde maliri ne Botswana goolo 1-1 mu mpaka ez'okusunsulamu amawanga aganaakiika mu Africa Cup of Nations Pamoja ez'omwaka ogujja 2027.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Hoima City Stadium.
Goolo ya Uganda Cranes eteebeddwa James Bogere mu ddakiika ey'omwenda.
Omupiira guno Uganda Cranes egwefuze ebitundu 55% ate Botswana ebitundu 45%
Abamu ku bazannyi abatandise ku ttiimu ya Uganda Cranes ye mukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango, wabula tamazeko mupiira guno olw'obuvune era nasikizibwa Kingdom Osayi.
Abalala abazannye ye Kenneth Ssemakula, Rogers Torach, Tobby Sibick, Al Hassan Baba, Bobosi Byaruhanga, Azizi Kayondo, Nathan Assimwe, Anorld Vula, Kevin Boateng, Frank Ssebuufu, Travis Mutyaba nabalala.
Uganda Cranes kati ekulembedde ekibinja H n'obubonero 05, Libya yakubiri n'obubonero 04, Botswana yakusatu n’obubonero 03 ate Tunisia yesembye n'obubonero 02.
Uganda Cranes egenda kukomawo mu kisaawe nga 17 November, okuddingana ne Botswana.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment