Ekitongole ekivunanyizibwa ku ttaka ly’obwakabaka ekya Buganda Land Board, (BLB), kiwangudde emizannyo gy'omupiira mu mpaka z'ebitongole by'Obwakabaka bwa Buganda ez'oluzanya olusoose mu mwaka guno 2026, ezibadde ezokusirisizaawo.
Buganda Land Board ewangudde mu kusamba omupiira ogw'e bigere bwekubye Muteesa Royal University ggoolo 4 -0 ku fayinolo.
Omupiira ogw'okubaka ogw'abakyala BLB ekubye Buganda Royal Institute ku bugoba 17-10.
Buganda Land Board era bebannantameggwa w’empaka z’okuzanya Ludo, nga kafulu wabwe, Kibalama Nicholas awangudde Kyeyune Moses okuva mu kitongole kya gavumenti ya Kabaka.
Mu kwesa Omweso, BBS Terefayina ezeetisse nga ewangudde aba Lubiri High School Mengo Campus.
Mu mpaka z’okutolontoka emisinde, zino zisigalidde luzannya olw’akamalirizo, nga ebitongole okuli Buganda Heritage and Tourism Board, (BHTB), Nabagereka Development Foundation, BBS, Buganda Royal Institute, Nkuluze ne Lubiri High School bebatuuse ku luzanya olwakamalirizo era baakuttunka ku lw’omukaaga olujja nga 21 November,2026.
Ebitongole ebirala okuli CBS, Buganda Royal Institute, K2, Bicul, Lubiri Buloba Campus nabalala bawandukidde mu luzannya olusoose olubadde olw'okusirisizaawo.
Omukungu Andrew Adrian Mukiibi, ssenkulu wa Nabagereka Development Foundation, abaategese empaka z'omwaka guno 2026, agambye nti empaka zino zigendereddemu okugatta abakozi b'Obwakabaka, okukuuma emibiri nga miramu, n’okumanyagana.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment