Omupiira ogwakamalirizo ogw'ekikopo ky'omupiira gw'amasaza ga Buganda 2026, nga 31 October Gomba ettunka ne Kyaggwe ku ssaawa 10 ez'olweggulo.
Omupiira ogw'okulwanira ekifo eky'okusatu gwegusookwo wakati wa Butambala ne Bugerere ku ssaawa 6 ez’omuttuntu.
Minister w'ebyemizannyo abavubuka n'ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga akinoganyiza nti buli kimu kikoleddwa empaka zino okuzannyibwa ku mutindo ogwa waggulu ddala.
Gomba yakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi giri 5, nga yasooka kuziwangula mu 2004, 2009, 2017 ne 2020.
Kyaggwe empaka zino teziwangulangako, wabula fayinolo yaayo gyeyasooka okuzannya yali mu 2024 naye Buddu ne gitwalako ekikopo.
Gomba ne Kyaggwe zombi zibadde mu kibinja kye kimu Masengere mu mpaka ez'omwaka guno 2026, era zaalemagana goolo 1-1 e Kabulasoke ate ne Mukono goolo 1-1.
Gomba etendekeddwa Felix Ssekabuuza eyayambako Buweekula okuwangula ekikopo eky'omwaka 2025, ate Kyaggwe etendekebwa Ronald Ssali atawangulangako ku kikopo kino. #
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment