Olukiiko oluddukanya empaka z'amasaza ga Buganda ez'omupiira ogw'ebigere, lukakasiza ekisaawe kye Wankulukuku nti kye kigenda okutegeka final y'empaka z'amasaza ga Buganda ez'omwaka guno 2026.

Final y'empaka za Masaza ga Buganda ey'omwaka guno ejja kubaawo nga 31 omwezi ogwe 10.

Ekisaawe kye Wankulukuku kibadde kyasemba okutegeka final ya Masaza mu 2023, Bulemeezi bwe yawangula ekikopo ng'ekuba Gomba goolo 1-0. 

Kakaano ekisaawe kye Wankulukuku kigenda kuddamu okutegeka final ya Masaza y'empaka za Masaza ga Buganda ez'omwaka guno 2026. 

Mu 2024 omupiira ogw'akamalirizo gwali Namboole, ate mu 2025 zaali Nakivubo. 

Mu kiseera kino empaka za Masaza ga Buganda zatuuse ku mutendera gwa quaterfinal,Gomba egeda kuttunka ne Buddu, batandikira  Kabulasoke, Busujju yejja okusoooka okukyaza Butambala e Kakindu, Mawogola ejja kukyaza Kyaggwe e Ssembabule ate Bugerere yakukyaza Kyadondo e Ntenjeru. 

Oluzannya olusooka ku mutendera gwa quaterfinal lujja kubaawo nga 13 September.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe