Government ya Uganda ekyasobeddwa ku ngeri entuufu gyerina okusazaamu endagaano gyeyakola ne government ya Libya, ey'emigabo egiweza ebitundu 49%, government ya Libya gyeyagula mu National Housing and construction company limited.
Kalumanywera ava kuku nga Libya mu kiseera kino efugobwa government ez'enjawulo, oluvanyuma lwa government ya Col. Muamar Gadaffi okuvuunikibwa, naye nattibwa.
Mu mwaka gwa 2005, Libya yalina ebbanja lyeyali rbanja Uganda, era government z'amawanga gombi nezikkaanya ebbanja eryo lifuulibwemu emigabo gya government ya Libya mu kampuni ya National housing and Construction Company Limited.
Ssenkulu wa Kampuni eno eya National housing Eng. Kenneth Kaijuka, abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebizimbe n'ettaka, naagamba nti nga abaddukanya kampuni eno byabasobera dda kubanga kampuni tefuna buvugirizi, tesobola kwewola nsimb wadde, kubanga bannanyini migabo okuli government ya Libya neya Uganda tebasobola kutuula kusalirawo kampuni eno.
Agambye nti waaliwo ekiteeso kya government ya Uganda okugula emigabo gyonna egya government ya Libya mu kampuni eno , wabula byonna byasigala awo olwa government entuufu erina okutunda emigabo gino okubula ( government emu efugira Tripoli endala Benghazi).
Amyuuka Ssabawolereza wa government ya Uganda Jackson Kafuzi ayogedde kaati, nti government ekyalemeddwa okumanya government entuufu eya Libya gyerina okukolagana nayo ku nsonga y'okutunda emigago egyo.
Mu mwaka 2020, okubalirira okwalolebwa kampuni embalirizi y'ebitabo eya Price Water Coppers ku migabo gya government ya Libya gyerina mu kampuni eno eya national housing, yalaga nti gyaali gibalirirwamu obuwumbi 298.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment