Minister wa government ez'ebitundu Balamu Barugahare Ateenyi ayimirizza omusolo ogubadde gusooloozebwa government ez'ebitundu eri bannyini madduuka agatunda ebikozesebwa mu kuzimba, olwebimmotoka byago ezitukkula n'okutikkira ku makubo agaliraanye hardwares eI. ezo.
Minister Balamu Barugahare okuyimiriza omusolo guno, asinzidde ku kwemulugunya kwabannanyini hardware zino nga bayita mu kibiina ekibataba ki Construction Hardware Dealers Association CHADA.m kwebaawereza eri ministry ye, nga balaga obutali bumattivu bwabwe ku musolo guno.
Mukwemulugunya kwaabwe banyonyola nti hardwares zabwe mu bitundu by'eggwanga byonna gyezisangibwa basasula buli musolo ogwalambikibwa government, wabula ate government ez'ebitundu nazo zibongerako omusolo olw'ebimmotoka byabwe ebyettika ebyamaguzi olwokuyimirira ku mabbali gamakuno nga bitikkula oba nga byettika ebyamaguzi ebyo.
Minister Balamu mu kiwandiiko kyafulumizza ekiyimirizza omusolo guno, agambye nti wetaaga okubaawo okunoonyereza okwenjawulo ku nsonga eno, kwekulagira government ez'ebitundu ziyimirize mbagirawo okusolooza omusolo guno ku hardware zino okumala ekiseera, nga bwebeetegereza omusolo guno.
Minister Balamu agambye nti ministry ye egenda kutuula nebekikwatako bonna balambulule ensonga eno , wabula mu kiseera kino omusolo ogwo gugira guyimirira okusooloozebwa.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment