Makindye
Wabaddewo okuwanyisiganya ebigambo wakati w’abalozi nabalondesa muzimu ku polling staton mu division ye Makindye, bwebalese obululu obutalina kubeera bwa mu kitundu ekyo ekivuddeko okulonda okulwawo okutandika.
Embeera eno ebadde ku polling stations nga Nyakinyuguzi, Boston, Kigagga ne Kosovo era okulonda kutandise kikeerezi.
Kigambibwa nti ekitundu kino kya Ssalaama B, so ng’Obululu obwasoose okutwalibwayo bwabadde bwa kitundu kya Salaama A,era wano abamu ku bantu ababadde bakedde okujja okulonda basazeewo okweddirayo awaka.
Mu division ye Makindye abalonzi balonze bakansala bokka oluvanyuma lwa munna NRM Yasin Umar okulangirirwa ku bwa mayor, ng’abalala 11 ebisaanyizo byabwe byali tebiwera.
Okutwaliza awamu okulonda ba mayor ba municipalities n’abakiise b’olukiiko lwa municipalities kubadde kwamuswaba, nga bwegwali mukulonda ba ssentebe ba district ne ba kansala.
Ebifo ebimu.abalondesa bakozesezza obuuma obukozesebwa mu kulonda, ate abalala bakozesezza alijesita okukebera abalonzi.#
.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment