Minister wa government ez'ebitundu Balam Barugahare ayisizza ekiragiro ky'okukwata abakozi 8 mu district ye Kaliro, abateberezebwa okukozesa obubi wofiisi zaabwe, abalyi b'enguzi, nabawandiisa abakozi ab'empewo.

Balamu akyatalaaga eggwanga nga bweyetegereza emirimu bwegitambula, era e Kaliro asanze abakozi bangi baava dda kubuvunanyizibwa bwabwe. 

Balagidde police egire ng'ebaggalira nga bwebanoonyerezebwako.

Kuliko ow'ebyobulimi Maxwel Mbalumya, Edward Kamaga ow'ebyenjigiriza agambibwa okuwandiisa amasomero ag'e mpewo, eyaliko engineer w'enguudo Nyonyintono Patrick, ateekeratekera ekibuga Jamal Takuwa nabalala.

Minista Balamu agambye nti tagenda kugumiikiriza balemereddwa okuweereza, ababba sente za government abalya eza PDM, abawa emirimu abakozi abatalina bisaanyizo, nga kwotadde nabalala abakozesa obubi wofiisi.


Bisakiddwa: Kirabira Fred