Abaali batereka ensimbi zabwe n’abaalina emigabo mu
bank y'ebyobusubuzi eyaggalwa; eyayitibwanga National Bank of Commerce, baddukidde
eri Bank enkulu eya Uganda nga baagala banka yabwe ezzibwewo, kibasobozese okuzzaawo
ssente zaabwe n'okuriyirirwa.
Babadde mu nsisinkano eyayitiddwa
Banka enkulu eya Uganda, mu kutema empenda ku ngeri gyebayinza okuyambamu abantu
abaali batereka ensimbi zabwe ne Banka eno, kko n'okuwuliriza okwemulugunya
kwabwe ng’ensisinkano eno eyindidde ku woteeri ya 4 points by Sheraton mu
Kampala.
Governemnt yaggalawo Bank eno, ng’ennaku 27 September,2012, olw'ensonga ezenjawulo omwali
n'okubanga yali tekyarina nsimbi zakugiddukanya, ekintu ekyaleka abasuubuzi mu
kusoberwa.
Abamu ku baali batereka mu Bank eno
nga bano bawangaalira mu bitundu bya Kigezi, balaze enyiike, nga bagamba nti bangi
ebyenfuna byabwe byadda emabega nga byona byava ku kuggalawo Banka eno,
awataali na kubawa budde bumala kweteekateeka nakuggyayo ensimbi zabwe.
Bagamba nti baatuka n'okulowooza oba
Bank yaabwe yatundibwa eri Crane Bank, nga bwekiba kituufu baagala
bakimanye.
Geoffrey Kayanja, munnamateeka weyali
Board Chairman ku kakiiko ka Bank eno, Amos Nzeyi, agamba bbo kyebasinga
okwetaaga ye Bank yabwe okuddamu okuggulwawo kuba yali ebayamba, ngera
beteefuteefu okukola kyonna ekyetagisa.
Agambye nti ekisinga okubennyamiza
kwekufiirizibwa kwe baayitamu oluvanyuma lw'okuggalwawo nga n’okutuusa kati abamu
bakyali mu mabanja.
Wabula ku ludda lwa Bank enkulu eya
Uganda, Stephen Lukwago okuva mu department ya Bank Resolution akabatemye
nti tekikyasoboka kuddamu kuggulawo Bank eno, wabula naabawa amagezi nti
bwekiba kisoboka baddemu okusaba license buto, n'okunoonya ensimbi obuwumbi 150, zebasobola okutandikirako ng'amateeka bwegalagira.
Ku nsonga yokuliyirila abaali abakozi mu Bank eno, naabali bagibanja, ensimbi ezo zirina kuva mu bintu ebyali ebya Bank eno, ebikyatundibwa, wabula nga ziyiinza okuba ez'omuswaba kubamu ebimu byali byayonooneka.
National Bank of Commerce mu kusooka yayitibwanga Kigezi Bank of Commerce, nga yatandikibwawo mu 1991.
Nga 27 September, 2012 bank enkulu eya Uganda yagyiggalawo.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment