Wofiisi ya Ssaabaminister wa Uganda ng'ekolera wamu n'ekitongole ekibudabuda ababundabunda ki UNHCR batandise okuddamu okuwandiisa ababundabunda bonna abali mu Uganda.

Minister avunanyizibwa kubabundabunda n'ebigwa bitalaze Sam Engola agambye nti okuddamu okuwandiisa ababundabunda bonna kwatandise nga 07 September,2026 kwatandikidde mu nkambi ye Nakivale.

Mu ngeri yeemu minister Sam Engola n'omuteesiteesi omukulu mu wofiisi ya Ssaabaminster,Alex Kakooza balambudde ebitundu bya West Nile, okulaba  emirimu egikolebwa mu nkambi z'ababundabunda.  

Kiteberezebwa nti Uganda mu kaseera kano ebudamya ababundabunda obukadde bubiri n'emitwalo 30 (2.3m).

Okuva ababundabunda lwebaabalibwa emyaka nga munaana egiyise, omuwendo guno guzze gweyongera okulinnya, kyokka nga naabamu ku baabalibwa baasalawo okuddayo gyebaava.

Minister Sam Engola ategezezza nti ababundabunda abamu abaali baava mu South Sudan, government yabwe yatandise okubanona nebazaayo okwaboobwe.

Olw'obuyambi obuwebwa ababundabunda gyebuzze nga bukendeera, government ya Uganda kyevudde esazeewo okuddamu okuwandiisa ababundabunda bonna muggwanga, okusobola okubateekerateeker obulungi, nga waliwo n'abagambibwa okuba nti baayingira Uganda ng'abalambuzi wabula bwebatuuka kuno nebegatta mu babundabunda.


Abakulu mu kibuga Arua bategezezza nti waliwo ne bannauganda abewandiisa ng'ababundabunda n'ekigendererwa ekyokwagala okufunaku bintu ebiweebwa ababundabunda abava mu mawanga amalala.