Enjega egudde ku ssomero lya Tarim primary school ne Quran Memorisation Center, abayizi 4 bafudde kigambibwa nti balidde butwa.
Essomero lino lisangibwa mu Kikaaya zone mu gombolola ye Kawempe mu Kampala.
Abayizi bano bonna bawala nga bali wakati w'emyaka 9 ne 11.
Waliwo ebigambibwa nti omu ku baana abafudde yaleese emicungwa okuva ewaka, naagabirako bonne era bonna 4 bwebafudde.
Kuliko Nakitende Mariam myaka 11 wa P. 4, Kiruta Rwahim myaka 11 P. 5 , Nassuuna myaka 11 P.4, Nabeeta Failuzi myaka 9 wa P.3 era yafiiridde mu ddwaliro e Kasangati
Police etegeezezza nti abaana 3 ku bano bafiiridde Waka wa bazadde babw,e ate omu afiridde mu ddwaliro lya Kasangati gyabadde atwaliddwa okufuna obujjanjjabi.
Omwogezi wa police mu Kampala n'emiriraano Racheal Kawala agambye nti bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment