Government eragidde abasubuuzi bonna abalina amadduuka agaazimbibwa wansi mu bizimbe byomu Kampala (basement) okugaamuka mu bwangu ddala.


Government egamba nti KCCA bweyali eyisa plan z'ebizimbe ebiri mu Kampala, wansi mu bizimbe mwalina kubaamu parking za mmotoka, wabula bannyini bizimbe nebakyusa plan ezo parking nebazifuula  madduuka.


Minister avunanyizibwa ku mawuliire n`okukungamya eggwanga Justine Kasule Lumumba, asinzidde ku Media Centre mu Kampala, naategeeza ntu  olukiiko lwa ba minister olwakubirizibwa President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven, lwayisizza ekiragiro eri bonna abalina amadduuka mu basement okugamuuka bunambiro, abanesisigiriiza bagenda kubagobayo ku kiguba.

Buli nkuba lwetonnya mu Kampala, abasuubuzi bangi bazze bafiirwa emmaali yabwe olwa mukoka akuljkutira mu maduuka gabwe agali wansi mu bizimbe.

Government yayisizza obuwumbi bwa shs 18,999,500,000/=  okukwasizaako.abasuubuzi abawera 1841, abaayonoonebwa emmaali yabwe, abataba agaava ku namutikkwa w'enkuba eyafudemba nga 30 ne 41 October,2025, akeedi eziwera 13 mu Kampala amataba gaziyingirira.naddala eziriraanye omwala gwe Nakivubo.

Bisakiddwa: Musisi John