Club ya Kitara FC eya Uganda etandise nabuwanguzi mu mpaka za Africa eza CAF Confederations Cup, ekubye club ya Mogadishu City eya Somalia goolo 2-1 e Hoima.
Wadde omupiira guno guzannyidwa mu kisaawe kya Hoima City Stadium, naye club ya Mogadishu City yebadde ekyaziza Kitara.
Ttiimu zino zigenda kuddingana nga 12 September mu kisaawe kye kimu, kwolwo Kitara yekyaza.
Goolo eziwadde club ya Kitara obuwanguzi ziteebeddwa eyaliko nakinku mu mpaka za Masaza ga Buganda, Kalema Jimmy.
Omupiira guno gwa mutendera gwa round esooka ogw'okusunsulamu ttiimu ezinesogga omutendera gw'ebibinja, era omuwanguzi wakuzannya ne Al Ahly eya Misiri ku mutendera oguddako.
Kitara ekiikiridde Uganda mu mpaka zino, oluvannyuma lw'okuwangula Uganda Cup season eyise 2025/2026.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment