Government ya Uganda etegeezezza nti mu kiseera kino terina kyesobola kukolawo ku bbeeyi y'amafuta eyekanamye, ng'egamba ebireetedde ebbeeyi ya mafuta okulinya bisukka ku buyinza bwayo.
Minister avunanyizibwa ku by'obugagga ebyensibo Dr. Monica Musenero asinzidde mu parliament naasoma ekiwandiiko ekinyonyola ku bbeeyi y'amafuta epaaluuse.
Minister Monica Musenero alaze nti okulinnya kwa dollar n'okunaabuuka kwa shilling, kwossa entalo eziri mu mawanga ga Bawarabu amafuta gyegayita, byebimu ku biviiriddeko amafuta okulinnya.
Musenero era ayongeddeko nti n'omusolo ogwennusu 200 ezateekebwa ku buli liita y'amafuta mu mwaka gw'ebyensimbi guno ogutambula 2026/2027, nayo emu ku nsonga ereetedde ebeeyi y'amafuta okulinnya, kyokka agamba government tesobola kusalirawo buli ssundiro ly'amafuta beeyi kweririna kutundira.
Wabula okunyonyola kwe tekumatizza akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi, ng'agamba ensonga government zeyekwasa okugeza ng'omusolo ogwayongezebwa ku buli liita y'amafuta nnafu nnyo, kubanga bbo ng'oludda oluvuganya baavaayo nebawakanya omusolo guno, wabula government yo neesalawo okuguyisa.
Ababaka mu parliament abenjawulo nabo tebabadde na bigambo biwoomu era batabukidde government, nga bebuuza oba ddala terina kyesobola kukolawo ngate esobola okutandikira ku kuggyawo omusolo gweyateeka ku buli liita y'amafuta okutaasa bannansi kukazito akaliwo esaawa eno, nga bwekikoleddwa mu mawanga amalala.
Mu ngeri yeemu n'abakulu mu kitongole kya UNOOC bwebalabiseeko mu kakiiko ka parliament akalondoola enkola y'emirimu mu bitongole bya government nabo byeboogedde tebabadde nanjawulo nnyo nebiri mu kiwandiiko kya minister Musenero.
Kyokka Minister avunanyizibwa ku by'okwerinda ne nsonga z'abaazirwanako Kiryowa Kiwanuka yewunyisizza ababaka, bwategeezezza Parliament nga government bwetasobola kusalawo ku ky'ebbeeyi y'amafuta okukka, wabula nti bannauganda bebalina okukendeeza ku ntambula zaabwe, n'okusooka okukomya okwejalabya mu kiseera kino nga embeera bwetereera.
Amyuka Speaker wa Parliament Thomas Tayebwa alagidde nti ensonga eno ekomezebwewo mu parliament olunaku olwenkya olwa Thursday nga 08 October,2026, nga basuubira Minister w'ebyensimbi Henry Musaasizi okunnyonyola parliament embeera y'ebyenfuna bweyimiridde mu ggwanga.
Wabula ku masuundiro g'amafuta mu kiseera kino ebbeeyo ya Petrol eri wakati wa shs 67000 - 7500 buli liita, so nga eya Diesel eri wakati wa 6900 - 7700 okusiinziira ku masundiro agenjawulo.
Ate yo ebbeeyi ya dollar buli emu egula shilling za Uganda wakati wa 4000 ne 4050/=
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment