Abantu 4 abatanategerekeka bibakwatako bafiiridde mu kabenje akagudde e Nakasongola, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu, ate abalala 9 nebasimattuka n’ebisago eby'amaanyi.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Walusisi mu Town Council ye Migeera ku ssaawa nga nnya n'ekitundu ez'ekiro kya nga 09 November,2026, nga kabaddemu emmotoka ssatu omuli Mercedes-Benz, Toyota Hiace ne loole ya Isuzu.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Savannah ASP Sam Twiinamazima agamba nti okunoonyereza okusoose kulaga nti emmotoka ya Mercedes-Benz eyabadde efiiridde ku kkubo, yatataganyiza entambula ku luguudo luno naddala eri abagoba ababadde ku ludda oluva e Gulu okudda e Kampala.
Twiinamazima anyonyola nti akabenje Kano okubaawo, dereeva wa Toyota Hiace abadde ali ku misinde egya yiriyiri ng’ava e Gulu, mukutetenkanya okuyisa emmotoka eyabadde efudde, gyasanze loole ng'eva mu ludda lwa Kampala, n'agezaako okugiwugula ebyembi nalemererwa olwo naatomera loore neeggwa mu luwonko.
Abantu 4 abafudde bonna basajja abatannategeerekeka mannya, ate abalala 9 ababadde mu Toyota Hiace oba Taxi bayisiddwa bubi nebaddusibwa mu ddwaliro lya Nakasongola Health Centre IV nga bafunye ebiwundu ebyamaanyi, n’emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro eryo.
Police gamba nti dereeva wa Mercedes-Benz akwatiddwa naggalibwa mu kaduukulu ka police. #
Bisakiddwa: Taaka Conslata
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment