Ttabamiruka w’Abavubuka ategekebwa Eklezia Katulika mu Uganda buli mwaka wakutandika nga 7 okutuuka nga 12 December, 2026 e Nsambya ku YES Centre mu Kampala (National Youths Convetion 2026).

 Ssaabasumba w’essaza ekkulu Kampala Paul Ssemogerere akoowodde abavubuka mu Uganda yonna okwetaba mu nteekateeka eno olw’ebirungi enkumu byebabategekedde.

Mu nsisinkano ne Bannamawulire e Nsambya, Ssaabasumba agambye nti bateeseteese abakugu abagenda okwogerako n’abavubuka mu ngeri y’okubabudaabuda, okubagumya n’okubawa obuvumu bw’okwanganga ensi n’ebizibu byayo.

Mu mbeera eno Ssaabasumba awabudde abavubuka ku nkozesa ya Tekinologia esaanidde aleme okubawabya, wabula bamukozese olw’okukuza ekitiibwa ky’omuntu mu mpisa wabula sikuvvoola balala.

Ssaabasumba Ssemogerere era asabye abavubuka obutatya kwenyigira mu bukulembeze, wabula bakkirize okuwabulwa okuva mu abo abalina obumanyirivu mu by’obukulembeze.

“Mwenyigire mu bukulembeze, naye nga mukkiriza okuwabulibwa abalina obumanyirivu, osanga abavubuka bangi abakulembeze naye ng’ate tebaagala kuwabulwa, ekyo kyabulabe nnyo” - Ssaabasamba Ssemogerere

Ku nsonga y’okutawaanyizibwa mu bwongo olw’embeera y’ensi n’ebirala, Ssaabasumba asabye abavubuka obutasirika busirisi nga bafunye ebibasoomooza ,wabula bafune abantu bebeesiga boogereko nabo babayambe.

Agambye nti ekisinga obuzibu ennaku zino, bangi okutawanyizibwa mu bwongo naddala mu bavubuka, bennyini bebakwereetera olw’emize ng’okufuuweeta ebiragalalagala omuli enjaga, sseggereeti, omwenge oguyitiridde n’ebirala.

Ssenkulu w’ekitongole ky’abavubuka mu ssaza ekkulu erya Kampala Rev Fr. Dr. Joseph Mary Ssebunnya agambye nti balina bingi byebategekedde abavubuka byebatasaanye kusubwa omuli okumanyagana, okusanyuka n’okulambula ku bifo eby’ebyafaayo okwetoloola Kampala okuli Lutikko e Lubaga, Mmengo, Bulange n’ebirala.

Agambye nti basuubira abavubuka bangi ddala awatali kusosola mu ddiini kubanga Ttabamiruka ono w’Abavubuka bonna.

Ssentebe w’enteekateeka za Ttabamiruka ono Dr. George William Ssekanjakko agambye nti abavubuka abaneetaba mu Ttabamiruka ono bakusasulayo shs 20,000/= bafune ettu eribategekeddwa.

Okwewandiisa okwetaba mu Ttabamiruka oyita ku mutimbagano www.nyckeya.co.ug

Dr. George William Ssekanjakko asabye bannauganda okwongera okubakwasizaako baweze ensimbi obuwumbi busatu, zebaabalirira okusaasaanya mu Ttabamiruka ono (National Youths Convetion 2026).

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka