Mu butongole abavubi ba mukene bazzeenu okuvuba, naye nga balina okugoberera obukwakkulizo n’ennambika ebibaweereddwa government.
Abavubi ba mukene bonna balina okwewandiisa era bafune pamiti ezibakkiriza okuvuba.
Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, Robert Migadde Ndugwa, abadde ku ssengejjero ly’amawulire ga Government mu Kampala, n’ategeeza nti ennambika zino zigendereddwamu okutumbula envuba ey’obuvunaanyizibwa, okugoberera amateeka agafuga eby’obuvubi n’okukuuma ebifo eby’ennyanja wezaalira nga tebitaataaganyiziddwa.
Ennambika ezirina okugobererwa ziraga bulungi ebisaanyizo ebyetaagisa omuntu okufuna layisinsi emukkiriza okuvuba, ekika ky’eryato erikkirizibwa, engeri omuvubi gy’alina okuvubamu mukene, n’obuvunaanyizibwa bw’abavubi ne bannannyini maato g’abaagala okufuna pamiti.
Minister alaze nti buli district erina okuwaayo eri Ministry y’Ebyobuvubi, Obulunzi n’Obulimi olukalala lw’emyalo egikkirizibwa okuvubirwako mukene.
Ategeezezza nti abavubi oba bannannyini maato abalina ebisaanyizo bino be bajja okuweebwa pamiti baddemu okuvuba mukene.
Mu bisaanyizo ebirangiriddwa mulimu:
1. Okuba n’endagamuntu ne layisinsi ey’okuvuba mukene ey’omwaka 2026, 2025, 2024 oba 2023.
2. Okuba n’eryato eritasukka ffuuti 24 obuwanvu oba okukka wansi wa ffuuti ezo.
3. Okuba n’omugongo gw’eryato ogutasukka ffuuti ttaano.
4. Ekitimba eky’okuvuba mukene tekirina kusukka milimita 88. Ekitimba ekibadde kikozesebwa mu kuvuba mukene ekya Lampala kati tekikkirizibwa.
5. “Ababaliya”, oba abakozi abali mu lyato, tebalina kusukka babiri mu lyato limu.
6. Okuvuba kujja kukolebwanga okumala ennaku 14 okuva enzikiza wetandika buli mwezi.
7. Tewali akkirizibwa kuvuba mu bifo eby’enyanja webizaalira, mu byondo oba mu buwanvu bwa kiromita bbiri okuva ku lubalama lw’ennyanja.
8. Buli lyato erigoba ku mwalo lirina okuba ne mukene gwe bavubye n’ekitimba kye bakozesezza mu kuvuba.
Obuvunaanyizibwa bw’omuvubi ne nannyini lyato:
Minister era alambise obuvunaanyizibwa bw’omuvubi oba nannyini lyato ayagala okufuna olukusa okuddamu okuvuba mukene.
1.Nannyini lyato alina okusaba layisinsi y’eryato lye lyagenda okukozesa mu kuvuba, ne pamiti z’ababaliya b’anaakozesa.
2.Alina n’okukakasa nti ekitimba ky’agenda okukozesa weekiri ,kisobole okwekebejjebwa abakugu mu by’obuvubi okukakasa nti kituukana n’ebisaanyizo ebiteereddwawo.
3. Alina okuwaayo ebiwandiiko bino:
-Endagamuntu.
-Kkopi za layisinsi ze yabanga nazo mu myaka egyayita.
-Ebiwandiiko ebikakasa obwannannyini bw’eryato.
-Ennamba y’essimu eri mu mannya ge.
-Okukakasa nti alina ssente z’anaakozesa okusasula ebisale bya layisinsi oba pamiti okusinziira ku muwendo gw’amaato n’abakozi balina
Minisita ategeezezza nti kino kijja kuyamba omuntu okusasula ebisale ebyetaagisa amangu ng’okusaba kwe kukkiriziddwa.
Government yali yateeja ekkoligo ku bavuba mukene mu February 2026, olw'envuba embi eyali ekozesa ebitimba bi kkokota, nga tetaliza bwennyanja buto.
Bisakiddwa: David Ssekayinga
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment