Omutindo gwa club ya Express FC mukwano gwabangi mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ya 2026/27 gwongedde okugwa, bwekubiddwa omupiira ogw'okutaano season eno. 

Club ya Vipers erumbye Express mukwano gwabangi omwayo mu kisaawe e Nakivubo n'egikubirayo goolo 2-0, bwetyo Express nekubwa omupiira ogw'okutaano mu mipiira 12 gye yakazannya season eno. 

Express season eno yakawangula emipiira 2 gyokka, ekubiddwa emipiira 5 ate namaliri ga mipiira 5.

Express kati eri mu kifo kya 14 ku ttiimu 18 n'obubonero 11 okuva mu mipiira 12, era etebeddemu goolo 11 ne bagitebamu goolo 15.

Omutindo guno gwongedde okuteeka omulimu gw'omutendesi wa Express FC Morley Byekwaso mu matigga, mu kiseera nga Express yakuzako okuzannya ne Entebbe UPPC nga 03 omwezi ogujja ogwa December,2026.

Mu kiseera kino BUL ekulembedde liigi eno n'obubonero 26, NEC yakubiri n'obubonero 26, Villa Jogo Ssalongo yakusatu n'obubonero 21, Entebe UPPC yakuna n'obubonero 20 ate ne KCCA yakutaano n'obubonero 20.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe