Abadde ssenkulu w'ekitongole ekivunanyizibwa ku kulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya ekya Uganda AIDS Commission, (UAC), Dr. Nelson Musoaba, afiiridde ku gy'obukulu 59.

Okusinziira ku minister avunaanyizibwa ku nsonga z'obwapresident Milly Babalanda, Dr. Musooba afudde ku bukya ku  ssaawa kkumineemu neddakiika 45 ezokumakya nga 22 November,2026 mu ddwaliro lya Medipal Hospital mu Kampala.

 Dr.Musooba abadde atawanyizibwa ekirwadde kya kookolo okumala ekiseera ekiwera, nga yasooka najjanjabibwa naatereera, wabula oluvannyuma lw'ekiseera kkookolo yazzeemu nattuka.

Milly Babalanda agamba nti okufa kwa Dr Musooba, kubakubye wala, kuba kutuukidde mu kiseera nga babadde mu kweteekerateekera olunaku lwensi yonna olwokwefumintiriza ku kirwadde kya Mukenenya olubaawo buli nga 1 December.

Agambye nti Dr. Musooba abadde ku mwanjo gw'okulwanyisa mukenenya wakiri omwaka 2030 gugende okutuuka nga tewakyali muntu akwatibwa siriimu mu Uganda.

Dr. Musooba,  abadde ateeka nnyo essira mu kulwanyisa okusosola abalina akawuka.

Bisakiddwa: Ddungu Davis